• Latest
  • Trending
  • All

Bannauganda bafunye ekyejo nga besigula eddagala eriweweeza siriimu – Josephine Kaleebi owa Reach Out Mbuya alabudde abantu okumwewala kwekusinga

December 2, 2024
Ennaku za Kalema zitandika n’okusiiba evvu – ez’omwaka guno zitandika 18 February,2026

Ennaku za Kalema zitandika n’okusiiba evvu – ez’omwaka guno zitandika 18 February,2026

February 17, 2026
RPP edduukiridde abaana b’abantu abaasibwa olw’ebyobufuzi – basabye president Museveni ayimbule abantu abaasibwa olw’ebyobufuzi

Omwezi gwa Ramathan gulabise – abasiraamu batandika okusiiba nga 18 February,2026

February 17, 2026
RPP edduukiridde abaana b’abantu abaasibwa olw’ebyobufuzi – basabye president Museveni ayimbule abantu abaasibwa olw’ebyobufuzi

Okunoonyereza ku mubaka Muwanga Kivumbi ku misango gy’obutujju kukyagenda mu maaso – azziddwayo ku alimanda e Kitalya

February 17, 2026
Auto Draft

Katikkiro Mayiga akubirizza abaami ba Kabaka okwettanira Tekinologiya ow’omulembe mu nkola y’emirimu

February 17, 2026
Omwana afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Namugongo – gusanyizaawo n’ebyamaguzi

Omwana afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Namugongo – gusanyizaawo n’ebyamaguzi

February 17, 2026
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kyazanga – lukululana ebasaabadde

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kyazanga – lukululana ebasaabadde

February 17, 2026
Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

February 16, 2026
Police ekutte abantu 5 abateeberezebwa okubbisa emmundu – kigambibwa beebatta eyali ekulira police e Ntaawo Mukono

Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga

February 16, 2026

Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa

February 16, 2026
Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

February 16, 2026
Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

February 14, 2026
Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

February 14, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Health

Bannauganda bafunye ekyejo nga besigula eddagala eriweweeza siriimu – Josephine Kaleebi owa Reach Out Mbuya alabudde abantu okumwewala kwekusinga

by Namubiru Juliet
December 2, 2024
in Health
0 0
0
0
SHARES
87
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Obulwadde bwa mukenenya bwongedde okwegiriisa mu kibuga Kampala era n’engeri gyebusaasaanamu naddala  mu  bifo ebisanyukirwamu n’ebiwummulirwamu , zetaagamu enteekateeka ez’amangu okubwaηanga okuddiriza ku muwendo gw’abakwatibwa akawuka kano buli lunaku.


Mu kujjukira olunaku lw’abalwadde ba mukenenya n’abaafa olw’obulwadde buno ku mukolo ogubadde ku lubalama lw’ennyanja Nnalubaale ku mwalo gwa  Port Bell e Luzira mu ggombolola y’e Nakawa mu Kampala, lutegekeddwa ab’ekitongole ky’obwannakyewa ekibudaabuda ababulina ekya Reach out Mbuya Health Initiative, KCCA n’ebitongole ebirala.

Kalondoozi w’ebyobulamu mu ggombolola y’e Nakawa, Dr. Oundo Christopher ku lwa Director w’ebyobulamu mu KCCA agambye nti mu bbanga lya mwaka gumu gwokka, abantu 24,596 mu Kampala bebazuuliddwamu akawuka akaleeta ssiriimu!

Dr. Oundo agambye nti wadde ebibalo byabalaze ogwo omuwendo, nti balina obukakafu nti omuwendo guno mutono nnyo kubanga bangi bakyatya okwekebeza okumanya bwebayimiridde ku nsonga za mukenenya.

Dr. Oundo Christopher

Dr. Oundo agambye nti bakyalina omulimu ogw’okwagazisa naddala abasajja okujjumbira enkola ezitangira mukenenya n’okwekebeza, nti  kubanga baakizudde ng’abaami batono ddala abeekebeza bw’ogeraageranya n’abakyala.

Agambye nti ekimu ku bivaako mukenenya okusaasaana kuliko obwamalaaya obusitudde enkundi naddala mu bifo ebisanyukirwamu okuli ebbaala n’ebifo abantu gyebagenda okubanyigaanyiga emibiri (massage)

Ssenkulu wa Reach out Mbuya, Josephine Kaleebi alaze okutya olw’engeri mukenenya gyeyeegirisiza mu bavubuka kyokka nga bangi baazaalibwa tebamulina naye nga bamukomboozezza bokka na bokka.

Mukyala Josephine Kaleebi agambye nti “wazzeewo ekyejo mu banna Uganda nga beeyibaala olw’eddagala eriweweeza ku bulwadde buno songa nalyo tebalikozesa nga bwebalagirwa”

Josephine Kaleebi Ssenkulu wa Reach out Mbuya,

Kaleebi agamba nti n’obulwadde obulala nga ssukaali, entunnunsi, okutaataagana mu bwongo nabwo bwongera ku akatyabaga k’okusaasaana kwa mukenenya.

Mmeeya wa Division y’e Nakawa omukolo guno mweguyindidde Paul Mugambe asabye banna Kampala nti ssinga beevaamu nebeerwanako kisobokera ddala okulwanyisa mukenya ne lutuuka 2030 ng’afuuse lufumo.

Wabula Mmeeya Paul Mugambe alaze okutya olw’abakulu mu KCCA okwesuulirayo ogwannaggamba mu kulondoola ebifo naddala ebbaala ebizze binokolwayo nti bifumbekeddemu obuseegu obugambibwa okuvaako okusaasaana kwa mukenenya.


Ku mukolo guno, abakyala Nyangeri Sarah ne Nabweteme Pross Mirembe abawangaala n’akawuka akaleeta ssiriimu boogedde ku mbeera gyebayiseemu omuli okumira eddagala n’okugoberera amateeka g’abasawo ekibayambye okuwangaalako okuzaala n’okukuza abaana baabwe nga tebalina mukenenya.

Bawanjagidde bannaabwe abawangaala ne mukenenya obutemalaamu ssuubi kubanga kisoboka bulungi okuwangaala n’akawuka ate nga tolwalalwala kasita ofaayo okutambulira ku biragiro by’abasawo.


Ku mukolo gwe gumu wabaddewo n’omwoleso gw’abaana abawala abaazaalibwa abazadde abalina mukenenya nga bano ebitongole bibabangudde mu mirimu gw’emikono mwebaatandika okufuna ku ssente okwebeezaawo n’okulabirira bakadde baabwe abatakyeyinza.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ennaku za Kalema zitandika n’okusiiba evvu – ez’omwaka guno zitandika 18 February,2026
  • Omwezi gwa Ramathan gulabise – abasiraamu batandika okusiiba nga 18 February,2026
  • Okunoonyereza ku mubaka Muwanga Kivumbi ku misango gy’obutujju kukyagenda mu maaso – azziddwayo ku alimanda e Kitalya
  • Katikkiro Mayiga akubirizza abaami ba Kabaka okwettanira Tekinologiya ow’omulembe mu nkola y’emirimu
  • Omwana afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Namugongo – gusanyizaawo n’ebyamaguzi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist