Abasuubuzi banna Uganda ababadde bakolera mu katale ka Nyakuron market mu kibuga Juba ekya South Sudan gebakaaba gebakomba, olwa nnabbambula w’omuliro eyakutte akatale n’asaanyawo emmaali yabwe, bawanjaze bagala kudda waka mu Uganda.
Akatale kano kabadde kakoleramu bannauganda abasukka mu 600.
Ssentebe w’abasuubuzi banna Uganda mu South Sudan Kigoye Nua, agambye nti tebalina kintu kyonna kyebasigazizza, naawanjagira government okuyita mu ministry y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, ebakwasizeeko abagala okukomawo bakomewo mu ggwanga.
Kigoye Nua agambye nti ebitundu 90% eby’emmaali gyebabadde batundira mu katale kano, babadde bagisuubula mu Uganda.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif












