Bannakibiina kya NRM mu kibuga Kampala abalina bendera zekibiina kino okweesimbawo ku bifo ebyenjawulo, olwaleero basisinkana obukulembeze bwekibiina kino obwokuntiiko okukwaasibwa bendera zaabwe ezibasemba okukwaatira ekibiina kino bendedera okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kibuga kino.
Ensisinkano eno egenda kubeera ku kisaawe kyameefuga e Kololo , nga etegekeddwa abakulembeze bekibiina kino mu kibuga Kampala
Salim Uhuru ssentebbe wa NRM mu Kampala agambye nti ensisinkano eno efananako ensisinkano ezibadde mu bitundu byeggwanga ebirala abakulu mu kibiina gyebabadde basisisnkanira okukwaasa bannakibiina kino bendera nokubasabira emikisa okuwangula ebifo.