Banna Kabula batandise namaanyi enteekateeka z’emisinde gya Kabaka egy’omwaka guno. Omwami w’essaza Kabula Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi agambye nti baakutuusa emijoozi mu ggombolola zonna ezikola essaza Kabula.Bibadde ku mukolo, omubaka omukyala owa district y’e Lyantonde Kemirembe Pauline Kyaka kwatongolezza okugula n’okutunda emijoozi gyemisinde gya Kabaka.Kabaka birthday run egy’omwaka guno giribaawo nga 28 omwezi guno.Ne kumulundi guno omulamwa gwa kulwanyisa mukenenya.