Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda kakubye mu kyapa ky’eggwanga ekimanyiddwanga Uganda gazette ebyava mu kulonda kwaba ssentebe ba districts.
Okulonda kwaba ssentebbe ba districts kwaliwo nga 22 January,2026.
Ebyava mu kulonda kwa ba ssentebe ba district byokka byebifulumidde mu kyapa, ba kansala babwe, ba mayor b’ebibuga ne municipaali bbo tebanassibwamu.
Ba ssentebbe ba districts ezikola Uganda abafulumidde mu kyapa ky’eggwanga bawerera ddala 146.
Abamu kwaabo abakubiddwa mu kyapa kuliko munnaNRM Eng Ian Kyeyune eyalangirirwa ku buwanguzi bwa district ye Wakiso,Nyombi mukiibi Kamaadi owa NUP eyawangula district ye kalungu, Kawuki Peter owa NUP eyawangula district ye Mpigi, Francis Lutaaya Mukoome owa NRM eyawangula district ye Mukono, John Kakande owa NRM eyawangula district ye Masaka nabalala
Okusinziira ku mateeka agafuga ebyokulonda,bonna abataamattira neebyo ebyalangirirwa kati baddembe okuddukira mu mbuga z’amateeka okuwakanya okulondebwa kwabo abaawangul, era nga bakubiddwa mu kyapa kyeggwanga.#











