Abasuubuzi n’abatandisi b’emirimu egyenjawulo mu Uganda, basisinkanye abakulira akakiiko akakwanaganya ensonga za bamusiga nsimbi mu maka gw’obwapresident aka State House Investors Protection Unit n’aba URA nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri gyebasobola okutambulira awamu ku lw’enkulaakulana y’eggwanga.
Ensisinkano rno ebadde ku wofiisi za State House Investors Protection Unit e Ntebbe.
Col Edith Nakalema akulira akakiiko ako, yebazizza bannauganda abasize ensimbi wano mu ggwanga lyabwe, n’agamba nti bebamwoyo gwa ggwanga abasookerwako era abalina okuyambibwa n’okukuumibwa mu mbeera ezenjawulo.
Agambye nti bayambye nnyo okuwa bannauganda emirimu,okusasula emisolo n’okwongera omutindo ku bintu ebikolebwa wano mu Uganda.
Col Edith Nakalema agambye nti waliwo ebittavvu bingi ebissiddwawo okukwatizaako ba musiga nsimbi n’asaba bannauganda okubyeyunira.
Awadde eky’okulabirako ekya Agricultural Credit Facility and small business recovery fund, ekirina okuyamba abalimi nabalina business entonotono okuziddaabulula, nti wabula banauganda bakyali batono abakyettanidde.
Col.Nakalema awadde ba musiga nsimbi amagezi okweyambisa enteekaterka ezenjawulo ezitaandikiddwawo government okutumbula eby’obusuubuzi n’ebyenfuna by’eggwanga, nga bewolayo ensimbi ku magoba amatono ate nebazizaayo nga tebakaluubiriziddwa.
Ssenkulu wa URA John Musinguzi agambye nti bannauganda bongedde okusomesebwa ku bikwata ku nsasula y’emisolo, okwewala okutaataaganyizibwa mu mirimu gyabwe.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abatandisi b’emirimu egyenjawulo mu Uganda, abasuubuzi n’abantu abalala bangi.#