Club ya Express FC mukwano gw’abangi etuuse kuntegeeregana ne Augustine Nsumba, okufuuka omumyuka wómutendesi owókuntiko Alex Isabirye ate era nókukola ng’omutendesi owókuntiko owa ttiimu ento eya Express.
Okulondebwa kwa Augustine Nsumba kugidde mu kiseera ng’omutendesi owókuntiko Alex Isabirye yakamala okuzza obugya endagaano ye ne Express ya mwaka gumu, oluvanyuma lwéndagaano ye eyómwezi ogumu okugwako.
Augustine Nsumba atendeseko club eziwerako okuli Lugazi, URA, Kyetume ne ttiimu yéssaza Kyaggwe mu mpaka z’amasaza ga Buganda ezómupiira ogwébigere.
Weyabeerera omuzannyi, Augustine Nsumba yazannyirako club okuli IBV eya Iceland, URA, Villa Jogo ne BUL.
Express yamazeeko oluzannya olusooka olwa liigi nóbubonero 25 okuva mu mipiira 15.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe