Amawanga ga Africa 5 gayiseewo okukiikirira semazinga ono mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ekya FIFA World Cup ekigenda okubeera e Qatar kunkomerero y’omwaka guno 2022.
Senegal, Ghana, Cameroon, Morocco ne Tunisia.
Senegal okuyitawo ewandudemu Misiri ku goolo 3-1 eza peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 1-1.
Ghana ewanduddemu Nigeria nga bagoberera etteeka ly’okuteeba goolo ku bugenyi. Balemaganye goolo 1-1 ate nga ogwasooka ogwali e Kumasi ttiimu zino zaalemagana 0-0.
Morocco ewanduddemu DR Congo ku mugatte gwa goolo 5-2.
Cameroon ewanduddemu Algeria egikubye goolo 2-1.
Tunisia ewanduddemu Mali ku goolo 1-0.
Ate e Bulaaya Portugal eyiseewo okugenda mu World Cup,ekubye North Macedonia goolo 2-0.
Poland eyiseewo ekubye Sweden goolo 2-0.
World cup y’omwaka guno 2022 yakubeera Qatar, okuva nga 21 November okutuuka nga 18 December.