Abayizi mu masomero n’amatendekero ga Buganda nga geegattiddwako amasomero ag’obwannannyini banywanyi ga Buganda bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe (Tondeka mu Luwalo) n’ettu ly’ensimbi obukadde bwa shs 92 n’omusobyo.
Batikkuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omulanga eri abakulira amasomero gano n’abasomesa okunyweza omutindo gwago era bagukuumire waggulu.

Katikkiro alambise ensonga 5 ab’amasomero zebalina okussaako essira nga basomesa abaana ba Kabaka okuli; Okusomesa abaana empisa ennungi ez’obuntubulamu, Okusomesa abaana ebikwata ku nnono n’Olulimi Oluganda, Okusomesa abaana ebyafaayo mu butuufu bwabyo, Okuyigiriza abaana eby’obulimi ate n’okusomesa abaana ebya Tekinologiya.
Kamalabyonna agambye kikakata ku bantu ba Buganda okweyanza Ssaabasajja Kabaka olw’okulengerera ewala n’asoosowaza eby’enjigiriza okuviira ddala lweyatuula ku Nnamulondo mu 1993, anti aliko n’akaama keyakuba abazadde nti “Eky’obugagga ekitagooka omuzadde kyayinza okulekera omwana, by’ebyenjigiriza”.
Mukuuma Ddamula ategeezezza nti eby’enjigiriza y’emmere y’emmeeme n’obwongo kale ng’omwana yeetaaga n’abifuna nga byamutindo olwo ayinze okugasa Buganda, Uganda, Ssemazinga Africa n’ensi yonna okutwalira awamu.

Minisiter w’Enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku Office ya Nnaabagereka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko abadde omugabe w’Oluwalo yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’ensawo y’ebyenjigiriza gyeyatandikawo okujuna abaana ba Buganda abatalina bulungi busobozi, gyagambye nti eyambye abaana bangi okufuna omukisa gw’okuyigirizibwa n’okukuguka mu bintu eby’enjawulo.

Owek. Nakate yeebazizza nnyo Bboodi z’amasomero n’amatendekero eby’Obwakabaka olw’okuwulira ekiragiro kya Ssaabasajja n’ebakissa mu nkola.
Mu ngeri yeemu Owek. Nakate yeebazizza ab’amasomero g’obwannannyini ag’abanywanyi ba Buganda olw’okukwasizaako Ssaabasajja nga basomesa abaana be ate n’okuwaayo “Bursary”.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki yeebazizza nnyo ab’amasomero gano abakiise embuga olw’okujja mu bungi ate n’ettu essava bwerityo.

Mu mbeera yeemu waliwo n’amasomero agaguze emijoozi gy’okuddukiramu emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka nga 12 April,2026okuli aba Trinity College Nabbingo-baguze gya bukadde bubiri n’ekitundu ne Amity College baguze gya mitwalo ataano.

Omumyuka wa Ssenkulu wa Muteesa I Royal University Omuk. Prof Vicente Kakembo akulembeddemu abakulira amasomero n’amatendekero agakiise embuga yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okumalayo olujegere lw’ebyenjigiriza olw’amasomero okuviira ddala ku masomero g’amabujje okutuukira ddala ku University.
Abakiise embuga kuliko; Muteesa I ROYAL University, Buganda Royal Institute of Business and Technical Education Mmengo, Bbowa Vocational Institute, Kasawo Institute of Business and Technical Education, Lubiri High School amatabi gombi, Lubiri Nnaabagereka Primary School, n’agamabujje okuli Kitunzi Nursery School okuva e Gomba, Pookino okuva e Buddu, Mbuubi okuva e Buvuma, Kkooki okuva e Kkooki, Ssekiboobo okuva e Kyaggwe n’amalala.
Ag’obwannannyini agakiise embuga kuliko, Buddu SS, Mt. St. Henry’s High Scool e Mukono, Amity College Nansana, Mother Kevin High school Kyengere, n’amalala.
Bisakiddwa Kamulegeya Achileo K











