Abakambwe ab’akabinja ka Alshabaab balumbye amagye agakuuma emirembe mu Somalia ag’omukago gwa African Union Transition Mission in Somalia, kigambibwa abawerako battiddwa n’abalala nebawambibwa.
Omuwendo gw’abajaasi abatuusiddwako obulabe tegunammanyibwa, era ng’abasinga bajaasi b’eggye lya Uganda erya UPDF.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa egye ly’omukago ATMIS, enjega eno oguddewo ng’obudde busaasaana, aba Alshabaab bakozesezza mmotoka mwebabadde teteze bbomu nebayingirira enkambi y’amagye g’omukago e Buulo Mareer mu kitundu kye Lower Shabelle region.#