Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga aka The Electoral Commission of Uganda kejjeerezza John Bosco Lubyayi Sseguya, omu ku bavuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament ow’ekitundu ekya Mawokota South mu district ye Mpigi.
John Bosco Lubyaayi Sseguya abadde ku bunkenke, era nga 15 December,2025 yayitibwa akakiiko okutwalayo ebiwandiiko byonna ebimukkiriza okwesimbawo.
Omulonzi mu kitundu ekyo Asiimwe Mariam yeyaddukira mu kakiiko k’ebyokulonda ng’alumiriza Lubyayi obutaba na biwandiiko bya S.6, ebyessalira ebirina okubeera naayagala okwesimbawo ku bifo by’ababaka ba parliament.
Ekiwandiiko ky’akakiiko k’ebyokulonda ekiteereddwako omukono gwa ssentebe waako Simon Mugenyi Byabakama, kiraze nti ebiwandiiko bya Lubyayi tebirina buzibu, era wakubeera ku kakonge akalonderwako, abavuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament ekya Mawokota South mu kalulu ka bonna aka 2026.
Lubyayi eyesimbyewo nga talina kibiina mwajidde, avuganya n’abantu abalala 6.#
Bisakiddwa: Patrick Sserugo









