Akakiiko akalwanirira obwenkanya aka Equal Opportunities Commission kayimirizza entegeka y’okusengula abantu abasoba mu 30,000 ku ttaka lya Sango Bay erisangibwa mu district ye Kyotera, okutuusa ng’ensonga zabwe zimaze okutereezebwa.
Abamu ku bantu abawangaalira ku ttaka lino, nga bakulembeddwamu munnamateeka wabwe Mukasa Mbidde baddukira gyekali nebakasaba okubataasa ku bantu abagambibwa ababatulugunya nga boonoona emmere ne bitundu byabwe ebirala.
Baategezeza akakiiko nti okunyigirizibwa kwebayitamu kungi, so nga babadde bekubira enduulu mu bakulembeze b’ekitundu nebatayambibwa kwekusalawo okuddukira gyekali kabataase.
Habiibu Sseruwagi omukungu mu Equal Opportunities Commission yaayisizza ekiragiro kino, oluvannyuma lw’okuwuliriza okwemulugunya okwatwaliddwa abantu bano.
Mukusalawo kwe Habiibu Sseruwagi asabye n’e bitongole by’okwerinda mu district ye Kyotera okussa mu nkola ekisaliddwa akakiiko.
Munamateeka Fred Mukasa Mbidde ategezezza cbs nti basuubira okufuna obwenkanya oluvannyuma lw’ ensonga zabwe okuzituusa mu Equal Opportunities Commission.
Ettaka lino erya Sango Bay eririko emberebezi, kuliko Government lyeyawa edda bamusiga ensimbi okulimirako ebinazzi sso nga eddala kuliko abantu abawangaalirako.#