Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kirangiridde munnansi wa Nigeria, omuteebi Ademola Lookman, nga omuzannyi asinze okucanga endiba ow’omwaka guno 2024.
Omukolo gw’okutikkira abawanguzi ku ngule ez’enjawulo gubadde mu kibuga Marrakech ekya Morocco.
President wa CAF Dr Patrice Motsepe yakwasizza Ademola Lookman engule.
Ademola Lookman okutuuka ku buwanguzi buno, yayambako club ye eya Atalanta egucangira mu liigi ya babinywera eya Italy okuwangula ekikopo kya Bulaaya ekyasookera ddala mu byafaayo bya club eno, ekya UEFA Europa League.
Yayambako ne Nigeria okukwata ekifo eky’okubiri mu mpaka za Africa Cup of Nations ezaali mu Ivory Coast, nga ne mu kiseera kino musaale nnyo mu kuyambako Atalanta ekulembedde liigi ya Italy.
Ademola amezze banne okubadde Simon Adingra azannyira mu club ya Brighton & Hove Albion eya Bungereza era munnansi wa Ivory Coast, Serhou Guirassy agucangira mu club ya Borussia Dortmund eya Germany era munnansi wa Guinea.
Achraf Hakimi agucangira mu club ya Paris St-Germain eya Bufalansa era munnansi wa Morocco ne Ronwen Williams agucangira mu club ya Mamelodi Sundowns eya South Africa era munnansi wa South Africa.
Ademola Lookman agenze okuwangula engule eno, nga munnansi munne Victor Osimhen yagiwangula omwaka oguwedde.
Ivory Coast ye ttiimu ey’omwaka erondeddwa olw’okuwangula empaka za Africa Cup of Nations, goolo esinze ya munnansi wa Angola Cristovao Mabululu, nga mu baamezze kwe kubadde ne munnauganda Dennis Omedi.
Club esinze ye Al Ahly eya Misiri, omuzannyi asinze ku mutendera gwa club.
Omukwasi wa goolo asinze ye munnansi wa South Africa Ronwen Williams.
Omuzannyi omuto asinze ye Lamine Camara munnansi wa Senegal.
Emerse Fae owa Ivory Coast ye mutendesi asinze nabalala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe