Ab’ekika ky’abeddira Akayozi banjudde omutaka w’akasolya omuggya Kafumu Batuuka Kizito, azze mu bigere bya Omutaka Emmanuel Obison Ddamulira Ssebitaaba eyabuze.
Kafumu omuggya bamwajulidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Omutaka Kafumu Emmanuel Obison Ddamulira Ssebitaaba Bitaaba yabula wiiki ewedde mu ddwaliro e Nsambya, gyeyali amaze ebbanga ng’ekirwadde kimubala embiiri.
Abadde akulembedde ekika okumala emyaka 44 okuva mu mwaka gwa 1979.
Omutaka Kafumu Batuuka Kizito, mutabani wa Emmanuel Obison Ddamulira Ssebitaaba Bitaaba eyabuze, muzzukulu wa Zakalia Musoke Wanyaga, era nga mukugu alina Degree mu kutabula eddagala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza omutaka Kafumu Batuuka Kizito okunyiikira okusoma era namusaba okwongera okunyweza ennono mu kika.
Agambye nti Obwakabaka buyimiriddewo ku Kabaka n’ebika ng’empagi sseddugge, naasaba ebika binyweeze ennono zaabyo.
Minister w’Obuwangwa ,ennono ,embiri n’eby’okwerinda mu Bwakabaka Owek David Kyewalabye Male, agambye nti Obutaka bw’Ekika kino obuli Nsasa buliko enkaayana ku ttaka ekintu ekitali kirungi, naasaba abazzukulu bakkiriziganye bagonjoole Ensonga eyo.
Omutaka eyabuze Emmanuel Obison Ddamulira Ssebitaaba Bitaaba waakuterekebwa e Kiganwa mu Ssingo, ku friday wiiki eno.
Bisakiddwa: Kato Denis