Omuntu omu attiddwa Envubu mu muluka gwe Ggulwe mu bizinga bye Bussi mu district ye Wakiso, bwabadde agenze okuvuba.
Attiddwa ye Lukwago Paulo myaka 32, alumbiddwa envubu ekubye eryato mwabadde asaabalira neeryasayaasa okukakana nga naye emukubye nemutta.
Mukalazi Charlse Ssenkandwa ssentebe w’eggombolola ye Bussi asabye ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo ebyomunsiko mu ggwanga ekya Uganda Wild Life Authority-UWA, okugenda mu kitundu babataase ku nvubu ezeeyongedde okutaama, nga mu bbanga lya mwezi gumu n’ekitundu zakatta bannabwe 3.
Mu ngeri yeemu abantu 70 bebagambibwa okuba nga battibwa envubu mu bizinga bye Bussi mu bbanga lya myaka ebbiri egiyise.
Ebye Bussi webijidde nga wakayita rnnaku mbale, nga waliwo n’abantu abalala 2 abattiddwa envubu mu district ye Kyenjojo.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe