Abazigu bamenye Ekerezia ya St Jude Sub Parish Nakasozi Buddo mu ssaza lye Kampala banyaguludde ebintu ebiwerako .
Bamenye enziji za Ekerezia, bwebatuuse munda batandikidde ku box eziterekebwamu ensimbi, ebyuma byonna ebibeera ku Ekerezia ebifulumya amaloboozi, ebyuma ebiwujja empewo ebyokubisenge babiwanuddeyo, olutimbe gagadde olwa Projector, n’emizindaalo byonna bakuuliise nabyo.
Fredrick Kirunda Ssabakulisitu wa St Jude Sub Parish ategezeaa CBS nti eklezia yonna esidadde nkalu, n’agamba nti ekiri mu ggwanga kyetaaga kusabira kubanga abantu bayitiridde obubbi nga tebakyaatya nannyumba za Katonda.#