Abasawo abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association (UMA) bennyamidde olwa government okuyimiriza abasawo ababadde baawanndiisibwa okujanjaba Covid 19, kyokka netabafunira mirimu mirala.
Bawadde ministry y’ebyobulamu nsalesale wa wiiki emu yokka okukomyawo abasawo abagobeddwa ku mirimu, bwekirema bakulangirira ekiddako.
Mu kiwandiiko kya ministry ekyasiddwako omukono gw’omuteesiteesi Omukulu Dr. Diana Atwine,yawadde ennaku satu okuba ng’ebifo byonna ebyali bisiddwamu abasawo abo okuggalwa, obujanjabi bwa covid 19 busigale mu malwaliro amanene.
Kino kyalese abasawo ababadde bajanjaba mu bifo ebyo nga tebasigazza mirimu, so nga waliwo n’abamu abaalekulira ku mirimu gyebaali nebewandiisa okujanjaba covid 19.
Wabula Dr. Diana Atwine agamba nti ministry tekyalina busobozi busasula basawo bano olw’ebbula ly’ensimbi.
Abasawo abakunganidde e Mulago nga bakulembeddwamu President wabwe owa UMA Dr. Oledo Samuel Odongo, bategezeza nti okugobebwa kwabanaabwe kikolwa ekiraga obutasiima bwa government, ate nga wakyaliwo n’eddibu lya basawo mu bujanjabi obulala mu ggwanga.
Dr Oledo era ategezezza nti embeera y’okugobebwa kwabanaabwe bano ebaletedde okutya nti n’ensonga zabwe ezabekalakaasisa omwaka oguwedde, z’andiremwa okukolwako nga bwebaasuubizibwa.
Nurse Nantayi Maria omu kubagobeddwa agambye nti okugobebwa kugidde mu kaseera nga bakyabanja omusaala gwabwe gwa myezi etaano.
Akiikidde government ensingo olw’obutababalirira bulamu bwabwe, so nti bewaayo nebaweereza eggwanga mu mbeera eyali enzibu.
Ekirwadde ki Covid 19 kyabalukawo mu Uganda mu march wa 2020,ekyawaliriza government okusaawo ebifo ebyenjawulo okujanjabiramu abalwadde ebyatuumwa emergency response centres.