• Latest
  • Trending
  • All
Abasaserodooti abaggya 28 bakubye ebirayiro – ssaabasumba asabye abakristu babasabire baleme kutwalibwa muyaga gwa nsi

Abasaserodooti abaggya 28 bakubye ebirayiro – ssaabasumba asabye abakristu babasabire baleme kutwalibwa muyaga gwa nsi

August 12, 2023
Enseenene ne Ndiga besozze semifinal y’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025

Enseenene ne Ndiga besozze semifinal y’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025

May 28, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Emmotoka etomedde abaana nga bava ku ssomero e Namungoona – omu afiiriddewo

May 28, 2025
Okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku nnaku z’abawala ez’akasanvu – government efulumizza ennambika empya

Okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku nnaku z’abawala ez’akasanvu – government efulumizza ennambika empya

May 28, 2025
Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders

Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders

May 28, 2025
Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders

Uganda ekoze endagaano ne Belgium okutumbula omulimu gw’eby’obulambuzi n’ebyemikono

May 28, 2025

Engabi Ensamba esisinkanye Engabi Ennyunga ku Quarterfinal z’omupiira gw’ebika by’Abaganda 2025

May 28, 2025
Omuliro gusaanyizzaawo ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya Shida Aisha orphanage Centre e Iganga

Omuliro gusaanyizzaawo ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya Shida Aisha orphanage Centre e Iganga

May 27, 2025

UPDF ekalambidde ku ky’okusazaamu enkolagana yaayo ne Germany – erumiriza Ambassador Mathias Schauer okukuta n’obubinja obusekeeterera government ya Uganda

May 27, 2025
Cameroon erangiridde ttiimu egenda okuzannya ogw’omukwano ne Uganda Cranes

Cameroon erangiridde ttiimu egenda okuzannya ogw’omukwano ne Uganda Cranes

May 27, 2025
CBS@ 29 – ekutusaako omwoleso okuva nga 17 – 22 June ku mazaalibwa gaayo

CBS@ 29 – ekutusaako omwoleso okuva nga 17 – 22 June ku mazaalibwa gaayo

May 27, 2025
Mathias Mpuuga atongozza ekibiina ekiggya ki Democratic Front – akabonero muti

Mathias Mpuuga atongozza ekibiina ekiggya ki Democratic Front – akabonero muti

May 27, 2025
Government esuubizza okuwaayo obuwumbi bwa shs 2 okutegeka olunaku lw’abajulizi e Namugongo ku ludda olw’ekkanisa

Government esuubizza okuwaayo obuwumbi bwa shs 2 okutegeka olunaku lw’abajulizi e Namugongo ku ludda olw’ekkanisa

May 27, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Abasaserodooti abaggya 28 bakubye ebirayiro – ssaabasumba asabye abakristu babasabire baleme kutwalibwa muyaga gwa nsi

by Namubiru Juliet
August 12, 2023
in Amawulire
0 0
0
Abasaserodooti abaggya 28 bakubye ebirayiro – ssaabasumba asabye abakristu babasabire baleme kutwalibwa muyaga gwa nsi
0
SHARES
107
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemogerere awadde Abadyankoni 8 Obusaaserdooti n’Abasebinaalio 10 abawadde omuluka ogwa Obudyankoni mu lutikko e Lubaga.

Ssaabasumba ababuuliridde okugoberera byokka Eklezia Katulika by’ayigiriza era babitambulireko n’okubiyigiriza abantu gyebanaaweerereza.

 

Abasabye bulijjo okutabeera n’amalala n’okutambula n’abantu bebaweereza kyokka nga tebatwalirizibwa bitaliimu.

“Musigale n’ensi naye mwewale okutwalirizibwa eby’ensi n’endowooza yaayo”

 

Mu ngeri yeemu Ssaabasumba asabye Abakristu okusabira ennyo abasaaserdooti abaggya n’abakadde baweereze bulungi, babaagale ate n’okubassaamu ekitiibwa.

“Ndaba mwenna abakungaanye wano olwaleero, musabire nnyo Abasaaserdooti bano, Omukama beyeebonaanyizza n’abalonda bamuweereze ku Altaali ye, mubaagale nga baganda bammwe, mubasseemu ekitiibwa naye mu byonna mubasabire nnyo”

Ssaabasumba asabye ab’enganda zabasaaserdooti abatuuse ku kkula lino, obutababinika mitawaana gyona naddala nga babakaabira ebizibu mu kino na kiri.

“Abasaaserdooti bano, mubaleke baweereze Omukama, tebalina ssente”

Abaweereddwa Obusaaserdooti ye; Rev Fr. Charles Kamya okuva mu Naddangira Parish, Rev Fr. Cosmas Ssegawa okuva e Nabbingo, Rev Fr. Denis Kirya okuva e Nsambya, Rev Fr. David Samuel Kawuki okuva e Jinja Kalooli, Rev Fr. Henry Ssemakula okuva e Nnaddangira, Rev. Fr. Joseph Katende okuva e Ndejje, Rev Fr. Martin Kiggundu okuva e Gayaaza ne Rev Fr. Timoth Matovu okuva e Bujuuko.

Bano bonna baakusoma Emmisa zaabwe embereberye ku Sunday nga 13 August,2023 mu maka ga bakadde baabwe.

Abaweereddwa Obudyankoni ye; Rev Dcn. Achileo Mukaaya, Denis Ssennyondo, Deogratius Alule, John Baptist Matovu, Henry Kalanzi, Joseph Kiwuuwa, Marvin Lukyamuzi, Victor Ssemwogerere, Richard Sserugo ne Edward Ssonko.

Emmisa eno yeetabyemu Abasaaserdooti b’essaza ekkulu Kampala, n’okuva mu masaza amalala, n’abakristu abagijjuza munda n’ebweru.

 

 

Mu ngeri yeemu omwepisikoopi w’essaza ly’e Masaka Bishop Serverus Jjumba awadde Abadyankoni 20 Obusaaseredooti, n’abasebinalio 16 abawadde Obudyankoni.

Omukolo gubadde mu lutikko e Kitovu.

 

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Enseenene ne Ndiga besozze semifinal y’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025
  • Emmotoka etomedde abaana nga bava ku ssomero e Namungoona – omu afiiriddewo
  • Okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku nnaku z’abawala ez’akasanvu – government efulumizza ennambika empya
  • Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders
  • Uganda ekoze endagaano ne Belgium okutumbula omulimu gw’eby’obulambuzi n’ebyemikono

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -