Emitwalo n’emitwalo gy’abakungubazi gikwatiridde okwetoloola ekibaangirizi kya St.Peter’s Square e Vatican, nga bonna balina essuubi erituuka munda mu lutikko okukuba eriiso evvanyuma ku mubiri gwa Paapa Francis.
Mu mu ssaawa 24, abantu abavudde mu mawanga agenjawulo abawera emitwalo 50,000 bebabadde bakagukubako eriiso, abalala bakwatiridde mu nnyiriri.
Enteekateeka y’okukuba eriiso evvanyuma ku paapa Francis yakumala ennaku 3, yatandise ku Wednesday nga 23 April,2025 okutuuka ku Friday nga 25 April, ku ssaawa bbiri ez’ekiro, essanduuko lwenaggalwawo.
Cardinal Kevin Farrell (Carmelengo) yagenda okukulemberamu emikolo gy’okusiba essanduuko omugalamiziddwa omubiri gwa Paapa Francis, nga bateekateeka okumuziika enkeera ku Saturday nga 26 May,2025 mu eklezia ya St.Maria Major e Roma.