Abantu abatanamanyibwa muwendo balowoozebwa okuba nga bafiiridde mu mazzi g’omugga Tangi ogubooze negusalamu oluguudo oluva e Nwoya okwolekera e Pakwach.
Balubbira b’ekitongole kya UNRA n’amagye bakola butaweera okunoonya abantu abatwalibbwa amazzi.
Abaguddemu kuliko abasaabaze ababadde basaabalira mu Taxi ebadde etwalibwa amazzi, saako ab’amagye ababadde bagenze okubataasa.
Kigambibwa nti omugoba wa taxi awalazza empaka n’ayingira nagezaako okuyita mu mazzi agabadde gasazeemu oluguudo, wabula n’alemererwa okugayitamu negatandika okutwala emmotoka.
Amagye galeese eryato okutaasa abantu ababadde mu mmotoka, wabula babadde bakaggyamu abamu mu mmotoka, ate amazzi negakuluggusa eryato neryebbika mu mazzi n’abantu ba bulijjo ababadde baggyiddwa mu taxi, saako ab’amagye abalibaddeko.
Okusinziira ku police, ab’amagye 3 ne balubbira ba UNRA 3, saako abasaabaze 6 ababadde mu taxi banunuddwa, ate abalala abatamanyiddwa muwendo bakyaanoonyezebwa mu mazzi okuzuula oba nga waliwo abalamu abawagamidde mu muddo n’abayinza okuba nga bafudde.
Amataba gasazeemu oluguudo oluva e Nwoya okudda e Pakwach ku nkulungo ye Tangi okumpi n’olutindo lwe Pakwach, oluvannyuma lw’enkuba esiibye efudemba mu kitundu ekyo leero nga 27 November,2024, omugga Tangi negubooga.
Ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) kirabudde abantu abava e Kampala abagenda mu West Nile nti bayitire e Paraa bagukkire mu Kisanja Park.
Abasaabaze abava e Gulu okudda mu West Nile basobola okuyita Atiak nebagwa mu Adjumani nebayita ku kidyeri.
Embeera yeemu yetuuse ku bantu abava e Kampala okugenda e Gulu, Kitgum ne Lira, nabo balina kudda Masindi nebalinnya ekidyeri ekinaabatuusa ku mwalo ewali oluguudo olugatta ku luva e Kampala okudda e Ggulu.