Abantu 10 bafudde n’abalala abasobye mu 30 nebafuna ebisago omuliro ogukutte ekifo ekisanyukirwaamu ekimanyiddwa nga Turkish Ski resort of Bolu mu ggwanga lya Butuluuki.
Abafudde kigambibwa nti babadde bali mundogo nga esindogoma bagenze okulaba ng’omuliro gukutte ekifo, ekiddiridde kubuna miwabo era mu kanyolagano ako abawera webafiiridde.
Amawulire galaze nti waliwo abantu babiri abafudde olwokubuuka okuva ku Hotel nga beetaasa ekibambulira.
Obutambi obuvaayo bulaga emirambo gyabantu egiwagamidde mu madirisa nga babadde bagezaako okuyitamu okwetasa omuliro.
Gavanor w’ekitundu Bolu, Abdulaziz Aydin atagezeezza nti omuliro guno gutandikidde mu kirabo ky’emmere negusaasaanira ebintu ebirala.
Mayor agambye nti bakyayongera okwekenneenya embeera nga bwebadde oluvanyuma bategeeze ensi.#