Abantu 9 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kabuga ke Kyoja Kinoni mu district ye Lwengo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Abafudde babadde basaabalira mu mmotoka kika kya Alphard No. UBL 314C ebadde eva Kampala ng’edda Mbarara, eyambalaganye bwenyi ku bwenyi ne lukululana No.SSD 327S/SSD 137 Q.
Police egamba nti byeyakafuna ku kabenje kano biraga nti ddereeva wa Alphard abadde avuga ndiima ate ng’avugira ku mukono ogutali gugwe, gyasanze Lukululana nezaambalagana.
Abantu 9 abafudde kuliko abakulu 7 n’abaana abato 2 bonna babadde mu Alphard, so nga ddereeva wa lukululana ne munne bwebabadde mu mmotoka bafunye ebisago eby’amaanyi baddusiddwa mu ddwaliro e Masaka.
Omwogezi wa police yokunguudo Faridah Nampiima alabudde ba ddereeva naddala mu nnaku zino ez’amazuukira okwewala okuvugisa ekimama, endiima, okwogerera ku ssimu nga bavuga, ettamiiro n’ebirala.#