Abantu 8 basimattuse okufiira mu kabenje k’eryato ku nnyanza Nalubaale mu bizinga bye Buvuma, eryato kwebabadde basaabalira likubiddwa omuyaga ogw’amaanyi engine neekyankalana wakati mu nnyanja.
Eryato libadde liva ku mwalo gw’e Kiyindi mu District ye Buikwe nga lyolekedde Buvuma.
Abasabaze abasimatuse okufiira kukabenje kano kuliko
Mukasa emmanuel myaka 30 ye mugoba w’eryato, Sejjemba Faizo 40, Kizza Umaru 21, Nali Juliet , 38, Masese Daniel 26, Kizza Umaru 28, Kyombaya Ibra 40, Kato Mudu 11.
Abantu bano 8 abasimattuse babadde mulyato eriyitibwa Allah akbar, kubaddeko ne piki piki 2.
Ekidyeri kye Buvuma ekya Palm connecting Buikwe kye kibasanze wakati mu nnyanja nga bibasobedde nekibataasa.
Omwogezi wa police mu kitundu kya Ssezibwa Hallen Butoto agambye nti police ye Buvuma emaze okuyingiza ensonga eno mu fayiro zaayo era nga etandise okunoonyereza ku mbeera eno eyabaddewo.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher