Abantu 4 okuli abasajja 3 n’omwana owobulenzi 1 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 08 nebaddusibwa mu ddwaliro nga embeera mbi, mu kabenje akagudde ku kyalo Kappa – Baluuli e Migyera mu district ye Nakasongola ku luguddo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Taxi ebadde ewenyuuka obuweewo No. UBQ 356 F ebadde ku ludda lwe Ggulu ng’edda Kampala eyingiridde Lukululana No. SSD 797A / SSD 353 F, nayo ebadde etunudde e Kampala.
Lukululana olugitomedde neremerera omugoba waayo nesaaabala emmotoka ya Buyonjo kika kya Premio ebadde ku mukono omulala ng’edda ku ludda lwe Ggulu No. UAX 554 L.
Omwogezi wa police mu kitundu kya Savannah Sam Twinamazima agambye abantu 4 bafiiriddewo, ate abalala 8 abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya Nakasongola H/C IV.
Bisakiddwa: Ttaaka Conslata