Abantu 12 bakakasiddwa nti bafiiridde mu njega y’okubuumbulukuka kw’entuumu ya kasasiro nerugwiira abantu e Kiteezi, songa abalala 10 banunuddwa.
Ebintu bya bukadde nabukadde bisanyeewo omuli ennyumba z’abantu, Ensolo, nekalonda omulala akozesebwa mu bulamu Obwa buligyo.
Enjega eno wegwiriddewo ng’enkuba ebadde amaze ennaku bbiri ng’efudemba mu kitundn ekyo.
Abantu abalala abaazimba okumpi ne Kiteezi ewayiibwa Kasasiro yenna ava mu kibuga Kampala ennyumba zabwe bazaabulidde, basibyeemu ebyanguwa.
Police etaakiriza ebibamba ng’eyambibwako eggye ly’Eggwanga UPDF , Uganda Red Cross society, bannabyabufuzi n’Abantu kinoomu basiibye bakola butaweera okuyikuula Kasasiro okuzuula abantu abaziikiddwa kasasiro,songa abamu tebakyajjukira watuufu nnyumba zaabwe wezibadde.
Ekitundu ku ntuumu ya kasasiro ebadde yafuuka ng’olusozi kyebeze nekiyiika mu buwanvu bwa mita 600 ku ludda lwe Lusanja nekitta abantu n’Okusuula enyumba.
Ku ludda lwe Kiteetikka waliyo Kalina bbiri ezigudde olw’Obuzito bwa Kasasiro, Essomero n’Ekisaawe nakyo kibikkiddwa, nebintu ebirala bingi.
Omwogezi wa police mu Kampala n’Emiriraano Patrick Onyango, agambye nti bakyakola ekisoboka okuyikuula ekifo kino okunoonya oba nga wakyaliyo abantu ababikkiddwa kasasiro.
Omuwendo gwa Katappira eziyikuula kasasiro gutuuse mu mmotoka 10, okusinziira ku kiragiro kya ssabapolice Abaasi Byakagaba.
Olukiiko olwetabiddwaamu Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ne minister omubeezi ow’Ebigwa bitalaze Lilian Aber, lusazeewo nti okuyiwa Kasasiro e Kiteezi kuyimirire mu bwangu ddala, KCCA efune ekifo ekirala gyemuyiwa.
Minister Lilian Aber ategeezezza nti nga government eyambibwako abadduukirize aba Uganda Red Cross etaddewo ekisaawe ky’Ekkanisa ya Kiteezi Church of Uganda bafune Emmere, awokweebaka ne zi kabuyonjo ez’Ekiseera, era abafiiriddwako abaabwe balagiddwa bewandiise , nga government bweyiiya ekiddako.
Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nti baali baasalawo dda Kasasiro akome okuyiibwa e Kiteezi, kyokka newatabaawo kissibwa mu nkola olw’Ensonga ezitategeerekeka.
Abatuuze abalala aboogeddeko ne CBS bategeezezza nti okufa kw’Abantu baabwe kuvudde ku buli bwenguzi obwasukka mu bakulu mu government abaasalawo okupaaza ensimbi ezaali ez’Okubaliyiriraa baabulire ekifo kino.
Ssenkulu w’Ekibuga Kampala Dorothy Kisaka mu kwoogerako eri banna Kiteezi, abasabye okubeera abakkakkamu nga ensonga zaabwe bwezikolwako.
Bisakiddwa: Kato Denis