• Latest
  • Trending
  • All
Abanoonyereza okuva ku Makerere University bafulumizza alipoota ekwata ku ngeri ebitongole bya government gyebimaamiddwa amagye ekikosa obuweereza obusaanidde eri abantu ba bulijjo

Abanoonyereza okuva ku Makerere University bafulumizza alipoota ekwata ku ngeri ebitongole bya government gyebimaamiddwa amagye ekikosa obuweereza obusaanidde eri abantu ba bulijjo

May 31, 2024
Ebigezo by’abayizi abatuula UACE 2026 bikomyewo – abayizi beyongedde okukola amasomo ga science n’okugayita

Ebigezo by’abayizi abatuula UACE 2026 bikomyewo – abayizi beyongedde okukola amasomo ga science n’okugayita

March 13, 2026
Nnabagereka akubirizza abakyala okubaako emirimu egivaamu ensimbi gyebatandikawo – abadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala mu Buganda

Nnabagereka akubirizza abakyala okubaako emirimu egivaamu ensimbi gyebatandikawo – abadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala mu Buganda

March 12, 2026

Uganda Law Society challenges suspension of NGOs at the East African Court

March 12, 2026

Obwakabaka bugguddewo empaka z’amasomero agali mu Buganda eza 2026 – ziyindira ku Kawanda S.S

March 12, 2026
Thomas Tayebwa amyuka sipiika wa parliament yegaanye eby’okubeera n’akakwate kuby’okumenya ekitundu ku katale ka Owino – liizi y’ettaka lye Nakivubo yagizzaayo mu KCCA

Thomas Tayebwa amyuka sipiika wa parliament yegaanye eby’okubeera n’akakwate kuby’okumenya ekitundu ku katale ka Owino – liizi y’ettaka lye Nakivubo yagizzaayo mu KCCA

March 12, 2026
Police ekutte abantu 3 mu Kampala- bakwatiddwa n’ennyama y’ente eteeberezebwa okuba ey’ente enzibe

Police ekutte abantu 3 mu Kampala- bakwatiddwa n’ennyama y’ente eteeberezebwa okuba ey’ente enzibe

March 11, 2026
President Museveni asisinkanye abakulembeze ba NRM abakalondebwa e Masaka – acoomedde abakulembeze abasirika obusirisi ng’ab’oludda oluvuganya boogera eby’obulimba ku ntegeka za government

Ssaabasajja Kabaka asiimye emikolo gy’amazaalibwa ge ag’emyaka 71 gikuzibwe ku eklesia ya Arthodox e Namuηηoona – olukiiko oluteesiteesi lulangiriddwa

Ssaabasajja Kabaka asiimye emikolo gy’amazaalibwa ge ag’emyaka 71 gikuzibwe ku eklesia ya Arthodox e Namuηηoona – olukiiko oluteesiteesi lulangiriddwa

March 11, 2026
Ebikwekweto mu Kampala ku Pikipiki binyinyitidde

Olunaku lw’abakyala mu Buganda nga 12 March,2026 e Buwama ku Ssaza ground

March 11, 2026
Ebikwekweto mu Kampala ku Pikipiki binyinyitidde

Ab’ebyokwerinda bongedde ebikwekweto ku bavuga emmotoka eziriko obugombe obumenya amateeka

March 11, 2026
Abaasomerako ku essomero lya Gayaza High School banjulidde Obwakabaka bwa Buganda enteekateeka z’okuzimba ekifo abayizi webasinziza ku ssomero eryo – omukolo gw’okutongoza okusonda ensimbi gwa nga 21 March,2026

March 10, 2026
Richard Baabo Kamugisha akakasiddwa ku kifo kya Ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda

Richard Baabo Kamugisha akakasiddwa ku kifo kya Ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda

March 10, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Abanoonyereza okuva ku Makerere University bafulumizza alipoota ekwata ku ngeri ebitongole bya government gyebimaamiddwa amagye ekikosa obuweereza obusaanidde eri abantu ba bulijjo

by Namubiru Juliet
May 31, 2024
in Amawulire
0 0
0
Abanoonyereza okuva ku Makerere University bafulumizza alipoota ekwata ku ngeri ebitongole bya government gyebimaamiddwa amagye ekikosa obuweereza obusaanidde eri abantu ba bulijjo
0
SHARES
100
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abanoonyereza okuva mu bbanguliro ly’ebyamateeka ku Makerere University, abanoonyereza ku ddembe ly’obuntu aba  Human Rights and Peace Centre , saako abanoonyereza okuva mu University of Copenhagen mu centre for Resolution of International Conflicts  batongozza alipoota ekwata ku nkola ey’okuyiwa amagye mu bitongole bya government ya Ugnada ebyenjawulo, engeri gyekosezaamu obuweereza eri abantu ba bulijjo n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu.

Alipoota bagituumye “Guns Bread and Butter Militarisation of Economic Sectors and Public institutions in Uganda”.

Mu alipoota eno, balaga akatyabaga Uganda keyoolekedde,naddala ak’okunafuya obuweereza obulina okuweebwa  bannansi, amagye negabeera nga gegasalawo ku buli kimu, ekyolekedde okunafuya ebitongole bya government ebyenjawulo.

Alipoota eraze nti ebitongole bingi tebikyakola nga bwebiteekeddwa kukola mu mateeka, wabula abajaasi ababiweererezaamu byebasalawo byebikola, ekirinnyirira eddembe ly’abantu ery’okuweerezebwa nga bwebasaanidde.

Dr. Zahara Nampewo, Dr. Sylvia Namwase ne Prof Kabumba Businje abamu ku baakulembeddemu okunoonyereza kuno, bagambye nti bannamagye okumaamira ebitongole okuli; eby’ettaka, eby’obulimi, eby’obuvubi, ebibira, n’ebirala  kirese bannansi bangi mu kunyigirizibwa okutagambika.

Abanoonyereza bano okusinga amakanda baagasiimba mu bitundu by’e Kasese, Karamoja n’awalala, okuva mu 2019 okutuuka 2022, nebakizuula nti amagye n’okukozesa emmundu mu bitongole kyenkana byonna, nti kikonzibya enkola y’emirimu n’okukosa enkulaakulana y’eggwanga.

Alipoota era eraze nti abagwiira nabo bamaamidde eby’enfuna by’eggwanga lino, era nga baweebwa enkizo mu mirimu mingi egyandikoleddwa bannansi.

Enkola endala gyebagamba ezingamizza enkulaakulna y’eggwanga, kwekuba ng’obuweereza obwenjawulo bwonna obwandituusiddwa ku bantu ba bulijjo butambulizibwa ku bukwakkulizo bw’eby’obufuzi.

Abanoonyereza bano baagala Parliament eddemu okukola omulimu gwayo nga yeetengeredde eyise etteeka erirambika emirimu gy’ebyenkulaakulana egirina okukolebwa amagye, okuzaawo enkola y’emirimu entuufu mu bitongole bya government nti olwo Uganda ejja kudda ku luguudo.

Alipoota egamba nti abakozi mu bitongole ebyenjawulo bebalina okusomesebwa okufuna obukugu obwetaagisa okukola emirimu egitali gimu, mu kifo ky’okugisaamu amagye, nebawa eky’okulabirako eky’enteekateeka ya NAADS, gyebagambye nti bweba yakugasa omuntu wa bulijjo, erina okuzzibwayo ku mulamwa kweyatandikira.

Wetukoledde eggulire lino, amyuka omwogezi w’amagye Deo Akiiki bwetumutuukkiridde okubaako kyayogera ku alipoota eno, agambye nti akyalina okusooka okugyekenneenya agitegeere bulungi.

Bisakiddwa: Naluyange Kellen

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ebigezo by’abayizi abatuula UACE 2026 bikomyewo – abayizi beyongedde okukola amasomo ga science n’okugayita
  • Nnabagereka akubirizza abakyala okubaako emirimu egivaamu ensimbi gyebatandikawo – abadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala mu Buganda
  • Uganda Law Society challenges suspension of NGOs at the East African Court
  • Obwakabaka bugguddewo empaka z’amasomero agali mu Buganda eza 2026 – ziyindira ku Kawanda S.S
  • Thomas Tayebwa amyuka sipiika wa parliament yegaanye eby’okubeera n’akakwate kuby’okumenya ekitundu ku katale ka Owino – liizi y’ettaka lye Nakivubo yagizzaayo mu KCCA

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist