Mu kukuza n’okujjukira olunaku lw’abakyala olukuzibwa nga 08 March munsi yonna, abakyala bano tubanokoddeyo era tubebaza olw’emirimu egyenjawulo gyebakola nga bayita mu police y’eggwanga.
Abakyala bano ye SCP Hadijah Namutebi omulungamya wa police mu nsonga z’ebyobufuzi Chief political Commissar ne SCP Nanding Christine omumyuka w’akulira eby’amateeka n’ensonga z’eddembe ly’obuntu mu police.