Ekitongole ekikola ku by’enteebereza y’obudde ki Uganda National Meteorological Authority kigamba nti enkuba ebadde etonnya
Emyaka egiyise enseenene zibadde zitandika okugwa ku nkomerere ya October (Mukulukusabitungotungo) nezinyinyiitira mu mwezi gwa November (museenene), wabula omwaka guno 2023 ennaku zeyongedde okutambula abantu balinda enseenene naddala abasuubuzi wabula tezirabikako.
Mu bitundu ewasinga okugwa enseenene okuli Masaka, Kasese, Fortportal, Mubende n’ewalala nayo tezirabikako.
Yusufu Nsubuga omukugu ku by’enteebereza y’obudde okuva mu Kitongole ekiteebereza embeera y’obudde mu ggwanga ekya Uganda National Meterological Authority, ategezeza nti okunoonyereza kwebakoze kulaga nti enkuba gy’ekoma okuba ennyingi eyonoona amagi g’enseenene negalemwa okwalulwa obulungi, ekiyinza okuba nga kyekiziviiriddeko okulwawo okugwa.
Yusufu Nsubuga agambye nti enkuba eyatonnya okuva mu October neyingira November, ereese obunnyonyovu obutasobozesa magi ga nseenene kwalulwa.
Agambye nti basuubira enkuba okukendeerako ku nkomerero y’omwezi guno ogwa museenene (November).
Enseenene entonotono ezaalabwako wiiki bbiri eziyise mu kibuga Kampala, ekikopo ky’ensenene enkongole kyali kigula wakati wa shs 15,000 – 25,000/=.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico