Ekikangabwa kigudde ku mwalo ogwe Nakibanga ogusangibwa mu gombolola y’e Kyamuswa mu bizinga by’e Ssese, omutuuze amanyiddwako erinnya limu erya Zaamunda asangiddwa afiiridde ku lyato bw’abadde agenze okuvuba.
Abadde n’obulwadde bw’akafuba, abasawo bagambye bwebumusse.
Amyuka ssentebe w’ekitundu David Ggaliwango agambye nti okusoomoozebwa kwebasanze kwekuba nti omugenzi abadde teyewandiisa eri abakulembeze mu kitundu okumanya ebimukwatako, era tebamanyi baluganda lwe.
Bisakiddwa: David Ssekayinga