Ababaka ba parliament Ssegirinya Mohammed owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West bakulindako emyezi nga ebiri miramba, kkooti ejulirwamu emalirize okuwulira emisango gyebyokulonda okusobola okutunula mu kujulira kwabwe nga basaba okweyimirirwa.
Bannamateeka babwe abakulemberwamu Erias Lukwago baatwala okujulira kwabwe mu kkooti eno, nga bawakanya ekya kkooti enkulu e Masaka okubagaana okweyimirirwa.
Kooti enkulu e Masaka yategeeza nti singa bayimbulwa,bakutataganya okunoonyereza mu misango egibavunaanibwa.
Mulimu ettemu,obutujju,okugezaako okutta n’emirala.
Kigambibwa nti ababaka bano bebaaluka olukwe lw’okukozesa ebijambiya okutematema abantu mu district ye Masaka ne Lwengo mu mwaka gwa 2021,abasoba mu 30 baafa n’abalala nebasigala n’ebisago.
Okusinziira ku munnamateeka wabwe Erias Lukwago, amyuka Ssabalamuzi Richard Buteera nga yakulira kkooti ejulirwamu yabategezeeza nti kkooti sinetefuteefu kuwuliriza kusaba kw’ababaka bano,okutuusa ng’emisango gyebyokulonda gyonna giwedde.
Ssabiiti eno kkooti ento e Masaka yasindise Ababaka bano mu kkooti enkulu batandike okuwerennemba, ekyabaggyeko ebbeetu ly’okuyimbulwa awatali kakwakkulizo oluvannyuma lwokuweza ennaku 180 mu nkomyo.
Baasibwa 27 September,2021.
Ku bumu ku bujulizi obwasindikiddwa mu kkooti enkulu,bulumiriza ababaka okugulirira Wilson Sennyonga agambibwa okuba omunarwanda, okutemula omutuuze Joseph Bwanika mu District ye Lwengo.
Wilson Ssenyonga era naye yagattiddwa ku fayiro y’emisango egibavunaanibwa ababaka.
Okusinziira ku ludda oluwaabi ababaka baasisinkana Ssennyonga mu kifo ekisanyukirwamu mu Ndeeba, nebamuwa ensimbi okutemula Bwanika.
Oludda oluwaabi lugamba nti n’obutambi obwoleka ensisinkano yabano ebulina.