Obwakabaka bwa Buganda bweyamye nti Bugenda kuyambako essomero lya Gayaza High School okugaziya ekifo abayizi webasinziza ekimannyiddwa nga Chapel.
Essomero lino lirina abayizi abasukka mu nkumi ebbiri, wabula ekifo kyebalina mu kaseera kano abayizi mwebasinziza kirina obusobozi bwakutuuza abayizi ebikumi bibiri bokka.
Kino kyekyawalirizza abayizi abaasomerako mu Ssomero eryo abeegattira mu kibiina ki Gayaza Old girls association,okutandika kaweefube w’okunoonya Obuwumbi bw’ensimbi 7 zikozesebwe okuzimba ekifo ekigaziko.
Bagambye nti baagala gigende okuwera emyaka 3 okuva Kati ng’ensimbi zino baziwezezza era nga n’ekifo kiwedde.
Bwabadde ayogerako naabasomerako mu Gayaza High school Abakiise Embuga okuloopa olutabaalo lwokunoonya ensimbi ezo werutuuse, Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owekitiibwa Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti Obwakabaka tebuyinza kubalekerera kubanga omulimu gwebaliko gwamugaso.
Akulira abayizi abaasomerako ku Gayaza High School abeegattira mu kibiina ki Gayaza Old girls association Christine Kasule Mulimba, agambye nti omukolo gwokusonda ensimbi ezo gugenda kubeerayo nga 21 March,2026 era bwatyo asabye abantu okugujjumbira babakwatizeeko.#
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus











