Abatuuze ku nsalo ya Uganda ne Tanzania e Mutukula baguddemu entiisa, bayizi besomero ba 2 bwebalonze ebintu ebyefananyiriza peeni mukuubo nga bagenda okusoma gyebigweredde nga bibwatuuse nga bomu ne bibatuusako ebisago ebyamanyi.
Abayizi bano omu alimumyaka nga 6 ate omulala wamyaka nga 4 egyobukulu, kigambibwa nti bupeeni bwebalonze kiteberezebwa okuba nga zibadde bomu.
Okusinzira kwomu ku batuuze ategezeza cbs nti obulonddeddwa bubadde bwakulira ddala nga peeni akamu kabadde mukaala myufu nengyeru ate akalala mukaala eziruggavu era nengyeru nga bulina nobusanikira nga peeni bwezibeera.
Kigambibwa nti abaana bano olwabulonze batandise okubuzanyisa era gyebigweredde nga bubwatuuse nebubasaako ebisago ebyamanyi mu maaso ne butundu byabwe ebyomubiri ebirala.
kitegerekese nti bano batwaliddwa mu ddwaliro okufuna obujjanjjabi nga nokwekenenya byebabadde nabyo bwekugenda maaso.