Abaali abakozi ba kampuni ya Nytil abasoba mu 100 bennyamivu olwa government okulwawo okubasasula ensimbi zabwe zebabanja, oluvannyuma lwa government okutunda kampuni eno.
Nytil yatandikibwawo government mu 1954, wabula mu mwaka gwa 1996 negitunda eri kampuni z’obwannanyini
Abakozi abaali bakolamu okuva olwo babanja ensimbi zabwe, era bakedde ku kooti e Jinja okwebuuza ku nsonga y’okubasasula sente zebwe wetuuse, wabula bavuddeyo tebamatidde.
Mu kooti bakiikiriddwa puliida wabwe Michael Nyabok, era ensonga zabwe zikwasiddwa omulamuzi Bukirwa Faridah, bamusabye alagire kampuni ebasasule sente zabwe zonna zebabanja ziri eyo mu buwumbi 300, bagala musibwemu amagoba.
Omulamuzi agambye nti agenda kwongera okwetegereza ensonga zabwe, n’ekiwandiiko ekyava ewa Ssaabawolereza wa government alambike ne ku bantu abatuufu abalina okusasulwa.
Bukirwa abagambye okuddayo mu kooti nga 17 May,2023 abawe ebinaaba bivudde mu nsonga zabwe.
Bisakiddwa: Kirabira Fred