Ssenkulu wa police martin Okoth Ochola alabudde bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya gavument bagambye nti bateekateeka okukola effujjo mu kiseera kyokulonda nakalulu nga kawedde nti tebeetantala, era anaagezaako ajja kwejjusa ekyaamuzaaza.
Martin Okoth Ochola asinzidde ku kitebbe kya Police e Nagguru bwabadde eggulaawo ensisinkano yabakulira ebitongole byebyokwerinda mu ggwanga,egendereddwaamu okutegeeza eggwanga ebitongole byebyokwerinda webiyimiridde okuwaayo obukuumi ngeggwanga lyetegekera okulonda okutandiika sabiiti ejja.
Martin Okoth Ochola alangiridde nti ebitongole byebyokwerinda byonna mu ggwanga byaakoze nga bikolera wamu kittole, byaakoze enteekateeka nnamutayiika gyaayise security master plan gyebagenda okusinziirako okunyweeza ebyokwerinda mu kulonda.
Martin Okoth Ochola wano wasisinzidde okulabula abavuganya gavument bagambye nti eneeyisa yaabwe eragirawo nti bateekateeka okukola effujjo ,nti tebagezaako ebitongole byeggwanga bijja kubanganga mu mbeera yonna esoboka.
Ochola agambye nti mu kiseera kino eggwanga teririna bulabe bwonna okuva ebweeru weggwanga, wabula obulabe obuliwo bebanabyabufuzi , bagambye nti abamu baalangiridde nadda nga akalulu tekanabaawo nti ssi bakukaanya neebyo ebinakavaamu.
Ochola anyonyodde nti abamu baakunze nadda abalonzi bakungaanire mu bifo eborondebwaaamu nti bakuume akalulu, kyagambye nti kikyaamu kwekulabula nti police nebitongole byebyokwerinda ebirala byaafunye dda obusobozi okuli emmotoka ,piki piki nebirala okutuuka mu bifo byonna ebyeggwanga okwanganga abo abateekateeka okukyankalanya akalulu nokukola nga kuwedde.
Ensisinkano eno, erimu minister wensonga z’ommunda mu ggwanga Gen Abubaker Jeje Odongo ,Minister Webyokwerinda Adolf Mwesige, akulira ekitongole kyamakomera Johnson Byashaija nabalala.
Johnson Byashaija asinzidde mu nsisinkano naatangaaza ku bannakibiina kya NUP abaabadde batwaalibwa mu kkooti e Masaka, baasi mwebaabadde nebuzibwawo, nagambye nti baasi eno bweyabadde mu kkubo ngeyolekera kkooti , ekkomera lye Masaka bafunye ekiragiro okuva mu kkooti yamaggye nti abantu abali eyo mu 50 abaabadde mu baasi eno, baabadde beetaagibwa mu kkooti eno era nti kati bali Makindye ewasangibwa kkooti eno.
Byabashaija agambye nti mu kiseera kino ekkomera lye Masaka lirina bannakibiiba kya NUP babiri bokka abatanatukiriza bukwakulizo bwa court okuyimbulwa, naye abalala bayimbuddwa.