Akakiiko ke byokulonda kakyalemeddwa okufuna obudde obuteekateeka nsisinkano eyabeesimbyeewo kubwa President nebitongole byebyokwerinda okumalawo embeera yokusika omuguwa wakati webitongole ebikuuma ddembe nabeesimbyewo okuze kubalwaako mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo.
Okusika omuguwa kuno kuze kwetobekamu okukuba omukka ogubalagala okukuba amasasi negakwatiramu abantu era bannansi bangi balekeddwa nebisago ebyamaanyi songa waliwo nabaffiiriddwa obulamu bwaabwe.
Sabiiti 2 eziyise, omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi ssentamu bweyasisinkana akakiiko kebyokulonda oluvanyuma lwabebyokwerinda okukuba emmotoka ye amasasi nokulumya abantu be abawerako, ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi yeyama okutuuza mu bwangu ensisinkano wakati webitongole ebikuuma ddembe nabeesimbyeewo okunogera ensonga eno eddagala.
Cue in ,……….Byabakama security meeting
Wabula sabiiti eno, omwogezi wekibiina kya National unity Platform Joel Ssenyonyi yasoomoza akakiiko kebyokulonda kategeeze eggwanga oba ensisinkano gyekayogerako yaali yakiguumaaza kubanga okuva lwekeeyama okugiteekateeka ,tekaddangamu kubabuulira ddi lweribaawo songa ebitongole ebikuuma ddembe buli olukya byeyongera okutulugunya omukulembeze wekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu buli gyalaga okunoonya akalulu.
Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama agambye nti akakiiko kaddeko kakwataganye nemirimu miyyitirivu kale nga tekanafuna budde buteekateeka nsisinkano eno.