Ekibiina kye by’obufuzi ekya Democratic Party kitandiise kawefube ow’okusisinkana ababaka ba palamenti abakikwatidde bendera , okusalira awamu amagezi kungeri gyebagenda okukolaganamu n’ebitongole ebikuuma ddembe naddala nga batandiise kakuyege .
Omukulembeze w’ekibiina kya Dp Nobert Mao yasisinkana ababaka bano, bakole ekisoboka okulaba nga tebagwera mu makkomera mu kaseera k’okusaba akalulu, nti kubanga abakuuma ddembe , amaaso agasinga bagatadde kubanna byabufuzi abali kuludda oluvuganya gavumenti.
Abamu kubakwtidde Dp bendera ku bifo by’obubaka bwa Palamenti abasangidde ku kitebe ky’ekibiina kino,bagamba nti bali mukutya nti abakuuma ddembe bandibalemesa okutuukirira abantu babwe.