Ssaabawolereza wa gavument William Byaruhanga ayogedde kaati nti abo bonna abatwaala ebyobugagga okwaali ettaka nebizimbe ebyaali ebyabayindi, gavument byeyasasula babirina mu bumenyi bwamateeka era birina okubagibwaako bizibweeyo eri gavument.
Waliwo nebyaapa 85 abayindi bwebaali bagobwa byebaali baasinga mu bank ezenjawulo kuno, nga babyeewolerako ensimbi, gavument eno eya NRM ngensimbi zino yazisasula mu bank zino, ebyaapa bino nga byaalina kudda mu mikono gya gavument wabula ate nebidda mu mikono gyabantu kinoomu, ate nebikolebwa nebyaapa ebyobwannanyini.
Ssabawolereza wa gavument William Byaruhanga asinzidde mu kakiiko akekiseera akali mu kunonyereza ku byobugagga bino akakulemberwa omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi gyeyayitiddwa okuwabula akakiiko ku nsonga zebintu gavument byeyasasula wabula ate nebitwaalibwa abantu kinoomu, naagamba nti yetaaga obudde okutunulira kimu ku kigu, wabula bwewabaawo ekintu kyonna gavument kyeyasasula ate nekitwaalibwa abantu kinoomu, tewali kulonzalonza, kibeera kyabugagga kya gavument
Akakiiko kano bwekamubuuziza ku nsonga zobukiiko bwa district obwettaka, obuze butunda ebyobugagga ebyaali ebyabayindi songa etteeka lyettaka likugira obukiiko buno okubaako ekyobugagga kyonna bwekigaba ekigwa mu ttuluba eryo, agambye nti abakulu ku bukiiko obwo abaze batunda ebintu bino betaaga kuggalibwa bakkangavvulwe.
Ku nsonga yekyaapa nnamba 25 okusangibwa ekizimbe Kampala Boulevard ekyannagagga Sudhir Rupalleria kkooti kyeyagemulira Sudhir mu ngeri eriko ebibuuzo , Ssabawolereza wa gavument William Byaruhanga agambye nti gavument egenda kuddayo mu kkooti okuwakanya ensala ya kkooti.
Ebimu ku byobugagga ebyogerwaako, akakiiko kagamba nti kiriko ekizimbe kya Kamu kamu, ekizimbe ekisangibwa ku Plot namba emu esangibwa ku luguudo parliamentary avenue palament kweepangisiza ababaka ofiisi nebizimbe ebirala nkumo.
Minister webyensimbi Matia Kasaija ssentebbe wolukiiko olufuzi olwa Custodian Board yewuunyiza nti bulijo ate gavument esaasaanya ensimbi okusasula ensimbi zobupangisa ku bizimbe ebyaayo, naagamba nti kino abadde takimanyi naye nga bwakitegedde, kalinde alipoota yakakiiko kano gavument ajja kusa mu nkola ebinaaba bisaliddwaawo.
Akakiiko kano kasazeewo okusaaawo ttimu okuli egatta abakulu mu offiisi ya saabawolereza wa gavument namu ku babaka bano, okwetegereza ebiwandiiko byonna ebikwaata ku byobugagga naddala gavument byeyanunula okuva mu bank wabula nebitwalibwa abantu kinoomu, nga kino kigenda kukolebwa wakati wennaku zomwezi 2 ne 12 omwezi ogujja.