Abantu 3 bakubiddwa amasasi mu kiro ekikeeseza olwaleero mu kibuga Jinja agattiddewo omuntu omu, Songa 2 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Jinja nga bali mu mbeera mbi ddala.
Enjega eno ebadde ku woteeri ya Crested crane mu Kibuga Jinja ku kizimbe kya woteeri eno ekippya ekizimbibwa, esaawa bwezibadde zikunukiriza okuwera Satu mu kiro ekikeeseza olwaleero.
Omwogezi wa police mu ttunduttundu lya Kiira Hajji Abey Ngakho agambye nti eyattiddwa ategerekeseko erya Mawa eyabadde supervisor wa kampuni yobwonnannyini eyobwerinda eya Hash security company.
Abey Ngakho agambye nti ababiri abaakubiddwa amasasi nebaddusibwa nebisago mu ddwaliro kuliko omukuumi wa kampuni eno eya Hash Security company saako omukozi wa kampuni ya Roll ezimba ekizimbe kya woteeri eno ekippya.
Hajji Abey Ngakho agambye nti enjega eno yabadde mu ngeri yabulumbaganyi ngabantu abalumbye nebakuba abantu bano amasasi tebanategerekeka, era police eri kunoonyereza okumanya ekituufu.