Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nti empaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2026 zakutandika nga 13 June, olwo zikomekerezebwe nga 31 October.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga enteekateeka eno agirangiriridde ku mukolo Obwakabaka kwe butongoleza enambika oba calender y’ebyemizannyo ey’omwaka guno 2026, mu Bulange e Mengo.
Owek Ssalongo Robert Sserwanga akinogaanyizza nti empaka zino nga tezinatandika nga 13 June, zijja kusooka kutongozebwa mu Bulange e Mengo nga 10 June.
Kinnajjukirwa nti Buweekula be bannantameggwa ba 2025, bwe baakuba Ssingo goolo 1-0 mu kisaawe e Nakivubo.
Obwakabaka omwaka guno bugenda kugutandika n’enteekateeka ey’okusiima abo abakoze obulungi mu by’emizannyo omwaka oguwedde 2025 mu nteekateeka eya The Buganda Sports Awards Gala enaaberawo nga 06 February,2026.
Oluvanyuma empaka ez’omupiira ogw’ebigere ku mutendera gwa magombolola zijja kutandika nga 14 February okutuuka nga 14 omwezi ogw’okusatu.
Ku mulundi guno Obwakabaka era bukakasiza nti bugenda kutegeka omuzannyo gw’emmotoka z’empaka ne Pikipiki, mu kukuza amazaalibwa g’Omutanda nga 06 okutuuka nga 08 March, ewamu ne ku matikkira g’Omuteregga okuva nga 03 okutuuka nga 05 July.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe








