Katikkiro Wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga, yebaziiza abazadde abaleese abaana mu Kisaakaate ky`omwaka guno 2026, era nabategeeza nti obutebenkevu bw’emmeeme z’abaana babwe butandikira mu maka.
Bwatyo abasabye okwongera ku budde bwevawa abaana babwe, nti era ebikolwa by’abazadde n’enneeyisa biwa abaana eky’okulabirako nabo okukula obulungi.
Katikkiro agambye nti kiba kirungi nnyo abaana bwe babeera abamalirivu okweyogerako n’okutuusa ensonga ezibanyiga, kibayamba okuvvuunuka okusoomoozebwa kwebayitamu n’okufuna obuyambi mu bantu abenjawulo.
Agambye nti Obuvumu, okwekkiririzaamu, ennono, obuwangwa n’ebirala, bibayigiriziddwa mu Kisaakaate, nategeeza okwo n’abazadde kwebalina okwongereza.
Nnabagereka Sylvia Nagginda asinzidde wano nalabula ku baate k’endwadde z’emitwe ezeyongedde mu baana baffe, bwatyo nasaba abazadde nababudaabuda abantu okuyambako abaana abali mu mbeera eno.
Nnaabagereka agambye nti mu Uganda, abaana ebitundu 23% batawanyizibwa obulwadde bw’obwongo, naddala obuva ku kwenyika mu mutima ekibaviirako obutatebenkera mu mbeera z’obulamu bwabwe.
Ekisaakaate ky’omulundi essira era likitadde kukuyamba abaana okuba abamalirivu okukugira ebintu ebiyinza okubaleetera obulabe ku bwongo bwabwe, nga n’emitimbagano mwogitwalidde era n’abasaba obutagoberera buli kiteekebwa ku mitimbagano naye balondemu ebyo eby’amakulu.
Nnabagereka era asabye Abasaakaate nti bwebaddayo ewabwe nekumasomero, byebayize mu Kisaakaate babigabaneko nebannaabwe.
Minister w`Obwakabaka owebyenjigiriza, Eby’obulamu ne Office ya Nnabagereka Owek Cotlida Nakate Kikomeko, alaze okutya olw`obuntu bulamu obwongedde okuggwa mu Bantu Abakulu n’abaana abato, nagamba nti era Obwakabaka butadde nnyo essira ku kwaηaanga okusomooza kuno.
Abasaakaate omwaka guno bawereeza obubaka obuli mu kitontome, eri abazadde nabantu bebawangala nabo mu maka, nga babasaba okukoma okubakambuwalira ekisusse, okubavuma n’okubayita amannya g’ensolo.
Bisakiddwa: Musisi John