Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye banna DP abalafuubanira Obukulembeze, okussa mu nkola Engombo yÁmazima nÓbwenkanya , Buganda bagiwe Omugabo gwayo , ate nÉnkulaakulana erabwako etuukirizibwe.
Abadde asisinkanye banna DP abakiise embuga, mu Bulange e Mengo.
Bazze n’ettua lya kakadde ka shilling kamu nekitundu.
Dp era eyanjulidde Katikkiro abakulembeze abavuganya ku bifo ebyenjawulo okubadde Beatrice Mao eyegwaanyiza ekyobwa Loodi Meeya wa Kampala.
Katikkiro agambye nti endabika embi eyÉkibuga Kampala nébitundu ebiriranyeewo eva ku butali bwenkanya, naawa Beatrice amagezi nti bwanaaba ayiseemu asooke kulowooza kukuyambako okussawo ebintu ebirabwako ebinaafuula Kampala eyenjawulo ng’ekibuga ky’eggwanga ekikulu.
Katikkiro asabye banna DP okubeera abeerufu mu nkola yaabwe eyeemirimu, Okuwagira Obwakabaka nÉntekateeka zaabwo, nÓkumanya byonna ebiruma banna Uganda.
President General wa DP Nobert Mao agambye nti ekibiina ky’akulembera kikkiririza mu nsonga ssemasonga ettaano ezÓbwakaba, era naasaba abantu okumanya nti enkolagana ya DP ne NRM egendereddwamu kufuna nkyukakyuuka yÓbukulembeze Omutali kuyiwa Musaayi.
Beatrice Mao agambye nti Uganda yetaaga Obukulembeze obutaliimu kweyagaliza, omutali bulyaake nÓkweyagaliza, era bwebubaka bwaggiddeko.
Bisakiddwa: Kato Denis












