Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, kirangiridde munnansi wa Morocco Achraf Hakimi nga omuzannyi asinze okucanga endiba omwaka guno 2025.
Omukolo gw’okutikkira bannamupiira abasinze bannabwe omwaka guno gubadde mu kibuga Rabat ekya Morocco.
Achraf Hakimi okutuuka ku buwanguzi ajjukirwa nnyo okuyambako club ye eya PSG eya Bufalansa okuwangula ekikopo kya UEFA Champions league omulundi ogwasookera ddala.
Hakimi yayambako PSG okuwangula ebikopo bya byonna ebyawaka e Bufalansa, ate nawangula ne kikopo kya UEFA Super Cup, nga kwotadde n’okuyambako Morocco okukiika mu World Cup w’omwaka ogujja 2026.
Amezze munnansi wa Misiri Muhammed Salah owa Liverpool eya Bungereza, ne Victor Osimhen owa club ya Galatasaray eya Turkey era munnansi wa Nigeria.
Ademola Lookman munnansi wa Nigeria ye yawangula engule ebadde ekyasembyeyo.
Ttiimu ya Morocco eyabazannyi abatasussa myaka 20 yesinze olw’okuwangula World Cup wa U20, club ya Pyramids eya Misiri yesinze, omutendesi wa Cape Verde Bubista yasinze, n’engule endala.
Ddifiri munnauganda Shamirah Nabadda alondedwa nga ddifiri omukazi asiinze.

Mungeri yeemu CAF esiimye abakulembeze okuli owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, owa Kenya William Ruto ne owa Tanzania Samia Suluhu olw’okulafubana kwebataddemu okusitula omupiira mu mawanga gabwe, naddala nga besigama ku mpaka za CHAN ezategekebwa amawanga gonsatule.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












