Club ya KCCA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, eziza bugya endagano ya captain Filbert Obenchan ebbanga eddala lya myaka 2 munteekateeka ey’okuggumiza ttiimu eno nga yetegekera season ejja eya 2025/26.
Filbert Obenchan endagano ye enkadde yaweddeko kunkomerero ya season ewedde.
Mu 2022 mweyatrrkera omukono ku ndagaano ya myaka 3.
Filbert Obenchan kakaano agenda kuweza ebbanga lya myaka 10 beddu nga acangira KCCA endiba, nga yasooka kuzannyira club ya KCCA ento wakati wa 2015 okutuuka 2017.
Ebbanga lye yakamala ku KCCA, yabawangulira ekikopo kya CECAFA mu 2019, Uganda Premier League mu season ya 2018/19 , ekikopo kya Uganda Cup, ekikopo kya Super Cup ate n’ekikopo kya FUFA Super 8.
KCCA mu kwetegekera season ejja 2025/2026 era yakamala okukansa abazannyi okuli omuteebi Ivan Ahimbisibwe gwe yafunye okuva mu club ya URA ne Lazaro Bwambale okuva mu club ya Kitara.
KCCA era yalangirira dda abatendesi abagya okuli Jackson Magera ne Brian Ssenyondo okukolera ewamu okutwala KCCA mu maaso.
Season ewedde KCCA tebyagitambulidde bulungi nakatono, olw’obutawangulayo kikopo, nga kakaano kitutte ebbanga lya myaka 6, nga bakwata ekifo kyakutaano ate ne Vipers ne bakubira ku final ya Uganda Cup.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













