Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes etandise okutendekebwa okwetegekera empaka za Africa Nations Championships CHAN ez’omwaka guno 2025.
Empaka zino zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania era zigenda kuzannyibwa okuva nga 02 okutuuka nga 30 omwezi August,2025.
Uganda Cranes etendekedwa mu kisaawe kya Luzira Prisons, era abatendesi ba ttiimu eno Fred Muhumuza ne Morley Byekwaso baayita ttiimu yabazannyi 41 okwetegekera empaka zino.
Wabula ttiimu eno yakoleddwamu enkyukakyuka mu bazannyi, nga omuzannyi James Bogere yasuliddwa nasikizibwa Paul Muvureezi.
Uganda Cranes mu mpaka za CHAN eri mu kibinja C ne Niger, Guinea, Algeria ne South Africa, era ekibinja kino emipiira gyakyo gyakuzanyibwa wano mu Uganda e Namboole.
Tanzania y’egenda okutegeka omupiira ogugenda okuggulawo empaka zino, Kenya y’egenda okutegeka omupiira gwa final ate Uganda yejja okutegeka omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













