Eyali omukungu wa police Nixon Agasirwe Karuhanga agguddwako emisango egigambibwa nti yenyigira mu ttemu eryakolebwa ku eyali omuwaabi wa government Joan Kagezi mu March, 2025.
Agasirwe yakwatibwa mu May 2025, oluvannyuma lw’emyaka 10, ku bigambibwa nti yeyavujjirira abantu abaatemula Joan Kagezi nga 30 March,2015 e Kiwatule Nakawa Division Kampala District.
Omulamuzi wa kooti y’e Nakawa Esther Nyadoi takkirizza Agasirwe kubaako kyayogera, olw’obunene bw’omusango nga guwulirwa kooti enkulu, kwekumusiindika ku alimanda okutuusa nga 08 July,2025.
Bisakiddwa: Betty Zziwa













