Omuntu omu afiiriddewo mbulaga n’omulala naddusibwa mu ddwaliro e Jinja nga biwala ttaka, mmotoka loole lukululana namba KCL 183B /ZE 1318 ebadde eva eJinja nga edda e Kampala bw’etomereganye e Isuzu Elf ebadde eva Lugazi ng’edda e Jinja.
Akabenje kagudde Nakibizzi ku luguudo oluva e Kampala okudda eJinja.
Afudde ategerekeseeko lya Grace ng’ono abadde musaabaze mu Isuzu Elf, ate Mohamed Naman nga munnansi wa Kenya yaddusiddwa mu ddwaliro eJinja era ng’ono ye mugoba w loole lukululana.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Ssezibwa Helen Butoto agambye akabenje Kano kavudde ku mugoba wa Lukululana eyabadde agezaako okuyisa nga eno gye yasanze emotoka endala bwatyo nebatomeregana.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis