Ekijjulo kya Nnaabagereka Sylvia Nagginda ekiyitibwa The Queen’s ball eky’omulundi ogw’okubiri kitongozeddwa.
Kyakubaawo nga 02 May,2025.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda bw’abadde atongoza ekijjulo kino ategeezezza nti nga bwekyali mu 2024, ekijjulo kino essira liteekeddwa ku by’obulamu by’obwongo.
Agambye nti obwongo kyekisinga obukulu ku mubiri gw’omuntu, nga singa bufuna ekizibu ebitundu ebirala bibeera mu katyabaga.
Ensimbi ezinaava mu kijjulo kino zaaakuyamba abaana n’abantu abakulu abatawaanyizibwa obulwadde bw’obwongo (Mental Health).
Nnaabagereka akubirizza abantu obutalekerera bantu batawaanyizibwa mu bwongo wabula babayambe.#