Ekitongole ekifuga ekifuga Kampala ekya KCCA kikyalinze alipoota ya Ssababalirizi wa government okumanya omuwendo gw’ensimbi omutuufu okulina okuliyirira abantu abaafiirwa ennyumba zabwe e Kiteezi mu Kyadondo, kasasiro bweyabumbulukuka n’aziika amaka gabwe, omwafiira n’abantu abasoba mu 35.
Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye agambye nti KCCA evunaanyizibwa ku kuliyirira amaka 40 agaaziikibwa, so ng’ate office ya Ssaabaminister yakuliyirira amaka 24 agaakosebwa mu nteekateeka y’okutema emakubo agaali galina okuyisibwamu emmotoka zi wetiiye ezaali zigenda okuyiikuula kasasiro eyali aziise abantu.
Minister agambye nti wakyaliwo ensonga nnyingi ezirina okwetegerezebwa, era nga waliwo n’amaka amalala mangi agali mu kibangirizi kya metre 200 okwetoloola ekifo ewali kasasiro, abaalagibwa okwamuka ekifo ekyo, nabo ensonga zabwe tezinamulunguka.
Kasisiro w’e Kiteezi akuηaanyizibwa okuva mu Kampala okuva mu mwaka 1996, yabumbulukuka n’akulukuta ku nkomerero wa July 2024, n’aziika amayumba n’okutta abantu 35, so nga waliwo n’abagambibwa okuba ng’emirambo gyabwe tegyazuulwa.
N’okutuusa kati KCCA ekyali ku nsitaano y’okunoonya ekifo ekirala ewalina okuyiibwa kasasiro.
Abakulembeze ba district bennyamivu olwa KCCA okuba ng’ekyalemereddwa okuzuula ekifo ekituusa gyerina okuyiwa kasasiro, nga bagamba nti kati ebimmotoka ebimutambuza webasaanga ekibangirizi webamuyiwa, ekyolekedde okuvaako endwadde.