Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakwatibwako mu nteekateeka z’enkulaakulana zonna okulaba nga abakyala baweebwa Omukisa okusitula ebyenfuna byabwe, nga bawolebwa ensimbi ku magoba amatono bagaggawale.
Nnaabagereka era ayagala abawala bongerwe amaanyi mu byenjigiriza, kibasobozese okuyita mu kusomooza okwenjawulo abakyala nabalala kwebayitamu okwekuusa ku butasoma.
Bwabadde yeetabye mu nsisinkano etuumiddwa Decent Africa Summit era nga yabadde Omwogezi owenjawulo ku Serena Hotel mu Kampala, Nnaabagereka ategeezezza nti ssinga bannakyewa bakolera wamu okuzza Obuntu mu Bantu, abakyala nabalala bakukulaakulana ,era ne Uganda yonna yakukyuuka.
Nnaabagereka yebazizza Abakyala bonna abaakola ekisoboka okutumbula ebyenfuna n’embeera z’Amaka naddala mu kiseera Kya Lumiima Mawuggwe COVID 19 ,omwaali abakyala abasawo, Abakyala abaafuula Obutale Amaka mwebaasulanga, bagambye nti bamuwendo.
Minister w’ebyenjigiriza era mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga Janet Kataaha Museveni, asabye abazadde Okwongera amaanyi mu kuweerera Abaana Abawala ,kibasobozese okukyuusa Omulembe ogwobutasoma n’Okwetya mu baana abawala.
Minister Omubeezi owa tekinologiya Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo era nga ye Muyima wa Decent Africa, asabye abakyala n’Abaami okufuba Okuteeka Empisa mu Baana abato, kiyambeko okununula ensi ejjuddemu abavubuka abatalina nsonyi.
Bisakiddwa: Kato Denis