Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda The Most Rev Dr Samuel Stevens Kazimba Mugalu akyoomedde government olw’okwesuulirayo ogwanaggamba ku ky’okulondoola bannuganda abagenda mu mawanga amalala okukuba ekyeyo nga bangi batuuka n’okuttibwa netavaamu kanyego.
Ssabalabirizi Kaziimba asinziiridde ku Mikolo egy’okwebaza katonda, olw’essomero lya Njovu Junior School e Nansana Wamala okuweza emyaka 10 bukyanga litandikibwawo.
Ssaabalabirizi agambye nti ssinga government wamu n’abantu ssekinoomu bongeremu amaanyi mukutondawo emirimu bannauganda abafiira kukyeeyo bajjakukendeera.
Agambye nti ekikwasa ennaku nti bangi bagenda okudda mu ggwanga ng’amaanyi gabawedde, nga n’ensimbi ezabatwala tebazirabako.
Ssabalabirizi mungeri yemu avumiridde abakyala abayittiriza okweyerusa ensanji nga asabye abakulisitaayo okumattira nekyo katonda kyabeera abawadde.
Ku mukolo guno ssabalabirizi agguddewo ekizimbe ekipya ku ssomero lino ekyimubbuddwamu erinnya, kituumiddwa Arch Bishop Kazimba Complex.
Gerald Batte nga ye mutandisi w’essomero lya Njovu Junior School yebazizza Katonda olw’obusobozi bw’abawadde okutuuka kaakano.
Omukulu w’ekika kyenjovu Mukalo Ssalongo Dr. Sylivester Ssesanga akubirizza abazzukulu okwongera amaanyi mukukola emirimu basobole okuweesa ebika byabwe ekitiibwa .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo